Amawulire
Abantu b’omutanda banajjanjabwa
Ab’ebyobulamu abali eyo mu 80 bebayunguddwa okujanjaba abantu ba beene nga twetegekera olunaku lw’ebyobulamu olutegekeddwa nga 29 November.
Kino kibukuddwa ssentebe w’akakiiko akateesiteesi ak’olunaku luno Dr Musisi olugenda okubeera mu ssaza lya ssabasajja erye Buddu mu lukungaana olukubiriziddwa omwogezi w’essaza lino Dick Lukyamuzi Ssenyondo.
Dr Musisi agamba enteekateeka eno yakukulungula wiiki namba nga abantu ba beene bajanjabibwa okuva nga 22-29 November.
Agamba baakukuba enkambi ezenjawulo emu e Kalisizo mu tawuni ye Rakai ate endala e Lwengo okusobozesa n’abantu abali mu masoso g’ebyalo okuganyulwa mu nteekateka eno.
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ii asuubirwa okubeera omugenyi omukulu ku mikolo egigenda okubeera e Masaka.