Amawulire
Abanyarwanda abafiridde mu mataba e Kisoro babaziise Uganda
Bya Benjamin Jumbe
Bannansi ba Rwanda 5 abamu ku bantu 9, abafiridde mu mataba mu disitulikiti ye Kisoro bazikiddwa.
Bano babaziise mu limbo ku ttak lya gavumenti e Rugina mu gombolola ye Nyarusiza e Kisoro munda mu Uganda.
Omubaka wa gavumenti mu disitulikiti ye Kisoro Peter Mugisha agambye nti bannansi ba Rwanda bano baafudde amayumba gaabwe bwegatwaliddwa amazzi agakuluguse okuva ku lusozi Muhabura, ku kyalo Buzeyi.
Abagenzi kuliko Claudian Uwizeyimana eyabadde aweza emyaka 30 ngono yafudde nabaana be 4 ababadde batemera wakati wemyaka 2 ne 6.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi Elly Maate agambye nti ebyalo ebyakoseddwa kuliko Buzeyi, Kabare ne Rukyere mu gombolola ye Nyarusiza.
Eno amayumba 50 gegakoseddwa, ebiime ebisnga byagoyeddwa nente 40, embuzi 34 nebirala.
Abantu abalala abfiridde mu njega eno kuliko Gerida Muhawenimana 4, Ivan Ngabire 2, Ntifzandekkura 5, Jackline Nyiransaba 30, Marrion Musingize 2, Mftite Rafiki 5, Mukamusoni 4 ne Joshua Eradukunda 11.