Amawulire

Abanyarwanda bagala kutandika kuyitibwa Abavandimwe

Abanyarwanda bagala kutandika kuyitibwa Abavandimwe

Ivan Ssenabulya

March 15th, 2021

No comments

Bya Moses Ndaye,

Abamu ku Banyarwanda abawangalira mu ggwanga lino basabye abobuyinza babakkirize bakyuse erinnya lye ggwanga lyabwe mu kifo kyokubayita abanyarwanda bayitibwa Abavandimwe, ekitegeeza abaooluganda.

Bano bagamba nti kino kyakubayamba obutabolebwa nyo bannauganda.

Mu kakiiko kabwe akapya aka Abavandimwe, bano bagamba nti bazze babolebwa mu ggwanga lino nga tebasobola kufuna bya bujanjabi, endagamuntu ne paasipoota

Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala akakiiko ka Abavandimwe nga kakulembedwamu Dr Lawrence Muganga, bafiiridwa ebintu bingi wano mu ggwanga nga ne mubyemirimu babasosola.