Amawulire
Abapoliisi bakugobwa lwa nguzi
Aba poliisi bonna abakola ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu bakukyusibwa mu kawefube w’okujjamu abalya enguzi.
Ekigendererwa kutereeza poliisi ekola ku by’entambula y’ebidduka oluvanyuma lw’okwemulugunya nti bano tebalidde nguzi woowe
Kamisona atwala entambula y’ebidduka mu ggwanga Steven Kasiima agamba nti bakakyuusa ba ofiisi 114 ku luguudo luno nga kati bagenda kudda ku baduumizi.
Nga bavudde e Gulu baakudda ku nguudo endala mu kawefube ow’okutereeza ekifananyi kya poliisi