Amawulire
Abapoliisi bakwatiddwa lwakutamiira nga bali ku mirimu
Poliisi ye Seeta Nazigo mu disitulikiti ye Mukono eriko basajja baayo bekutte lwakunywa nnyo mwenge neberabira emirimu saako n’okubuzaawo fayilo z’emisango.
Abakwatiddwa kuliko n’atwaala poliisi ya seeta Nazigo Steven Were ne Okero Wadanga.
Bano bakwatiddwa ku biragiro by’aduumira poliisi e Mukono Kayemba Kikonyogo oluvanyuma lw’abatuuze okwemulugunya nti bano ebiseera ebisinga baba bakongokka mumbejja namaalwa mu biseera by’okukola.
Kayemba agamba okunoyereza ku bwawaddanga ku baserikale bano kukyagenda mu maaso.