Amawulire

Abasawo aba Intern bazzeemu okwegugunga, 7 bakwatiddwa

Abasawo aba Intern bazzeemu okwegugunga, 7 bakwatiddwa

Ivan Ssenabulya

April 24th, 2023

No comments

Bya Ritah Kemugisa. Poliisi mu Kampala ekutte abasawo bakyakayiga 7 abakedde okwekalakaasa nga bawakanya ekya gavumenti okulwawo okubasindika mu kugezesebwa okwa internship. Bano batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Wandegeya.

Kitegerekese nti ababadde bekalakaasa basusse mu 30 era nga Poliisi webagwiriddemu, babadde bakumba boolekera Parliament ne Offiisi y’amaka g’omukulembeze w’eggwanga batwaleyo ekiwandiiko ekilala ekyoleka obutali bumativu bwabwe.

Bano babadde bakulembeddwamu Dr Judith Nalukwago era baagadde n’okulaga obutali bumativu ne kubintu ebilala bingi omuli n’ensimbi entono ezibawebwa okwo nga kwebagasse embeera embi mwebakolera.

Guno mulundi gwakubiri nga bekalakaasa, nga n’omweezi oguwedde baakola okwegugunga kwekumu era poliisi nebayimiriza.

Wabula Ministry y’eby’obulamu ku mulundi ogwo yategeeza nti tenafuna nsimbi zigenda kusasulira bano nga batuuse mu bifo gyebagenda okukolera.

Bano okukwatibwa, akulira eby’okwerinda e Mulago Superintendent of Police Victo Kkule, asoose kwogerako na bano wabula amagezi g’abadde abawa nebagazimuula.