Amawulire
Abasawo ababanja ensako y’okugema COVID-19 balagiddwa okusigala ku mirimu
Bya Ritah Kemigisa
Uganda Nurses and Midwives Union, ekibiina ekigatta abasawo balagidde ba memba baabwe okusigala ku mirimu nga bakola, okutuusa lwebanafuna okuddibwamu okutongole okuva mu gavumenti ku nsako yaabwe gyebabanja eyokugema ssenyiga omukambwe.
Pulezidenti wekibiina kino Justus Cherop agambye nti wiiki eno, baabadde batekeddwa okusisinkana abakulu mu gavumenti wabula ensisinkano baajijuludde yakuberawo ku Bbalaza wiiki ejja.
Cherop wiiki ewedde yategeeza ngomutima ogukola mu basawo bweguli wansi, olwengeri gavumenti gyebayisizaamu nga baluddewo okubasasaula ensako yaabwe.
Kino kyekimu ku bibanyigiriza ngebiralala kuliko obutabawa kyankya, kyamisana nga bagema abantu ssenyiga omukambwe.
Cherop era akukulumidde gavumenti nti baabongeza ensako okuva ku 2,000 okudda ku 15,000, wabula tebabanyonyola nti ate zigenda kujibwako omusolo gwa 30% era bamalirizza basigazza nusu 7,000.