Amawulire
Abasawo abakugu leero batandise akediimo kaabwe
Bya Mike Sebalu. Abasawo abali ku daala lya ba Senior Medical Officer ng’olumu bayitibwa ba Medical Officers Special Grade ekilo ekikeesezza leero batandise okwekalakaasa kwabwe oluvanyuma lw’ennaku 07 ezawebwa gavumenti okukola ku bubaluma okuggwako nga mpawo kyetuukirizza wadde okubawuliza.
Bano mu byebaagala bikorweko mwemuli okubongeza omusaala okuva ku bukadde 6 okutuuka ku bukadde 11, amannya g’ebifo byabwe ng’abasawo baagala gakakasibwe okufuulibwa baa bantu abebuzibwako n’ekigendererwa eky’okutambulira awamu n’omussala gwebalina okufuna n’ekalonda omulala.
Vabo olunaku lwa ggyo bayogeddeko eri bannamawulire nebategeeza ng’okukola kwabwe bwekwabadde kukomekkerera ku sawa 5 ez’ekiro ekiyise.
Mu buufu bwebumu, n’abasawo abanoonya obukugu abamanyiddwa ng aba Senior House Officers nabo bayimirizza okukola ku balwadde abali oubi ng’akamu ku kalembereza ku bukwakkulizo obwatekebwawo bwebaali batandika akediimo kabwe kati sabiiti namba eyise.
Bano nabo kino bakitandise mu kiro ekikeesezza leero oluvanyuma lwa gavumenti ookulemererwa okubasasula ensako yabwe ey’emyeezi 06 gyebabanja.
Dr Mark Mayanga omwogezi waba SHO yomu kubayogeddeko eri bannamawulire n’akakasa nga bwebagenda okutambuliza awamu okwekalakaasa kwabwe n’ababavunanyizibwako okubalondoola