Amawulire
Abasawo ab’ebulankanya ku mirimu balabuddwa
Bya Abubaker Kirunda,
Abasawo mu disitulikiti y’e Kaliro balabuddwa ku kutuuka ekikeerezi nokwosa ku mirimu gyabwe nti okubaviirako okugobwa.
Okulabula kuno kukolebwa omumyuka wa RDC Kaliro, Martin Kasonzi oluvannyuma lw’okukyala mu ngeri ey’ekimpowooze mu malwaliro mu disitulikiti eno nazuula nti abakozi b’ebyobulamu bangi beeyanjula ku mirimu ku ssaawa musanvu
Kasonzi agamba nti ku ddwaliro lya Kasokwe Health Centre III, yasanze eyo omusawo omu yekka.
Songa ate ku ddwaliro lya Bumana Health Centre IV yasanzeyo abasawo balubatu ddala.
RDC asabye akulira ebyobulamu mu disitulikiti okwongera amaanyi mu kulondoola n’okukung’aanya olukalala lw’abo abazuuliddwa nga tebali ku mirimu basobole okukangavulwa.