Amawulire

Abasawo abeeranga batulemye okulondoola-gavumenti

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Radio masts

Akakiiko k’ebyempuliziganya kakkirizza nga bwekatalina busobozi kulondoola abasawo b’ekinansi abeeranga ku mikutu gy’amawulire.

Bw’abadde alabiseko mu maaso g’akakiiko ka palamenti akakola ku kikula ky’abantu , akola nga akulira akakiiko kano  Jonas Muhoozi agambye  nti bafuna okwemulugunya kungi okuva eri abantu ne poliisi wabula nga mpaawo kya manyi kyebayinza kukola.

Muhoozi agamba emikutu gya leediyo mu ggwanga giyitiridde obungi nga basobola kulondoolakao nga 60 kwezo 200 eziri mu ggwanga.

Agamba nti mu kiseeera kino basobola kulondola disitulikiti okuli Mbarara, Masindi, Gulu ne  Mbale wabula nga bateekateeka kwongerako endala mu mwaka gw’eby’ensimbi guno.

N’abasawo beekinnansi batuuseeko mu kakiiko kano okuwa endowooza zaabwe ku ngeri ekisaddaaka baana gyekiyinza okulwanyisibwaamu