Amawulire

Abasawo balagiddwa okudda ku mirimu

Abasawo balagiddwa okudda ku mirimu

Ivan Ssenabulya

April 19th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Ekibiina omwegatira abasawo abazaalisa mu ggwanga ki Uganda Nurses and Midwives Union kiragidde abasawo abavunanyizibwa kukutereka ebiwandiiko bayite ba records officers, okudda ku mirimu bave mu kwekalakaasa.

Abawandiisi bano okuyita mu kibiina ekibagatta ki Bonded Uganda Health Information Officers ne  Medical Coders Association (BUMECA) bateeka wansi ebikola nga 1st April nga bawakanya omusaala omutono gwe bafuna.

Wabula mu kwogerako ne bannamawulire pulezidenti wa basawo abazaalisa, Justus Cherop says, agambye nti bali mu nteseganya ne gavt kunsonga za bano kale nga basanye okudda ku mirimu nga bwebalinda ekiva mu nteseganya.