Amawulire
Abasawo basazeewo okugenda mu maaso nákéddiimo kaabwe
Bya Mike Sebalu,
Abasawo ku mitendera egy’enjawulo abateeka wansi ebikola kati sabiiti ezisoba mu 3 nga bamemba mu Uganda Medical Association bakkanyizza okusigala nga bagenda mu maaso n’okwekalakaasa kwabwe okutuusa nga ensonga zabwe zikoleddwako.
Bano kuliko abebuzibwako abamanyiddwa nga ba-
Associate Consultants nga baagala gavumenti okutereeza ensobi eyakolebwa mu musaala gwe balina okufuna ekibaviirako okufuna obuswazi bw’omusaala.
Bano era baagala n’elinnya elibayitibwa okukyusibwa okuva ku Medical Officer Special Grade (MOSG) lye bagamba nti teririna makulu lifuulibwe Associate Consultant era likakasibwe.
Bano baagala n’enkola eyitwamu okukuza abakozi ku mulimu elungamzibwe buli omu agitegeere abantu balekere awo okukolera ku ddaala limu.
Bbo ba Senior House Officers bagamba nti nga sente z’ensako yabwe zimaze okukakassibwa mu mbalirira esuubirwa okusomebwa ey’omwaka ogw’ebyensimbi ogujja, nabo eky’okudda ku mulimu kikafuuwe.
Dr Hebert Luswata, Ssabawandiisi wa Uganda Medical Association ayogedeko naffe amangu daala ng’amaze okufulumye ekiwandiiko ekikwata ku bino.