Amawulire

Abasawo bawagidde banaabwe abediimye

Abasawo bawagidde banaabwe abediimye

Ivan Ssenabulya

November 10th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ekibiina ekigatta abasawo mu gwanga Uganda Medical Association bawagidde akediimo ka banaabwe, abasawo abakyli mu kutendekebwa, abaatadde wansi ebikola.

Aba Federation of Uganda Medical Interns (FUMI) batadde wansi ebikola nga 6 Novemba, nga bawkanaya embeera embi gyebakoleramu nebisubizo ebyempewo okuva ewomukulembeze wegwanga, ebitatekebwa mu nkola.

Pulezidenti wabasawo abakyayiga Mary Nabwire, ku Bbaaza yagambye nti omukulembeze wegwanga yabasubiza okwongeza ensako yaabwe nebiralala naye byonna tebyatekebwa mu nkola.

Yasubiza okuwbongeza okuva ku mitwalo 75 okudda ku bukadde 2 nekitundu nokulongoosa embeera awamu mwebakolera.

Kati batadde wansi ebikola nga babanja ntiebyabasubizbwa bitekebwe mu nkola.

Kati bwabadde ayogerako naffe pulezidenti wa Uganda Medical Association omugya Dr Samuel Oledo, agambye nti bababwagira butereevu kubanga abasawo mu Uganda bonna basanga okusoozebwa okwamanayi.