Amawulire
Abasawo b’ekinnansi bagaala tteeka libalambika
Abasawo b’ekinnansi wansi w’ekibiina ekibagatta bagaala palamenti ebage etteeka erinalambika emirimu gyaabwe
Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku kikula ky’abantu,akulira abasawo bano nga bakulembeddwaamu Maama Fiina bagambye nti tebakkiririza mu ddogo.
Maama Fiina agamba nti etteeka eribakwatako lijja kuyamba okubawuula ku balogo kubanga ogwaabwe gwakujjanjabisa nkola ya kinnansi sso ssi kuloga
Bbo ababaka mu palamenti baagala ebibonerezo ebikakali eri abasawo b’ekinnansi abeeranga ku ma leediyo.
Ababaka okubadde Dorothy Nshaija, Arinaitwe Rwakajara ne Ssekitoleeko Kafeero bagamba nti abasawo bano balimba abantu nebabanyaga.