Amawulire
Abasawo kati bagabana masiki nábalwadde babwe
Bya Moses Ndaye,
Obutaba na bikozesebwa bimala mu malwaliro mu kujanjaba ablina ekirwadde kya covid-19 kivirideko abasawo okugabana masiki na balwadde babwe.
Okusinzira ku muwanika wékibiina omwegatira abannansi nábazaalisa ki Uganda Nurses and Midwifes Union Annet Birungi mu kiseera kino tebalina kyakukola wabula kukkiriza bagabane masiki zino
Birungi agamba nti bakakibwa okwegulira masiki basobole okugatta ku za gavt abalemererwa ne basalawo okukozesa masiki ezirina okusuulibwa oluvanyuma lwokukozesebwa ebbanga lya ssabiiti namba.
Olunaku lweggulo ebibiina omwegatira abakozi basabye gavt okuteeka omulaka kunsonga eziruma abasawo abali ku mwanjo mu kujanjaba ekirwadde kya covid, omuli okubawa ebikozesebwa byonna, okubaterawo ensimbi ezenjawulo eri abo abajanjaba abalwadde ba covid ne birala, nokulabirira obulungi abasawo abafunye obulwadde bwa covid nga bali ku mirimu.