Amawulire

Abasawo mu malwaliro ga KCCA bediimye

Ali Mivule

July 15th, 2014

No comments

 

kiswa

Abasawo mu malwaliro ga KCCA bediimye .

Abomu   Kisenyi health center wano mu kampala bebasoose nga bagamba nti baakamala kati emyezi 3 nga tebalaba ku musaala.Abakyaala b’embuto bebasinze okukosebwa nga ababadde bazze okunywa eddagala babazizzaayo awatali kujjanjabibwa.

Bbo abatwala eddwaliro lino becwacwanye nebaggala geeti eyingira ku ddwaliro lino nga kati teri mulwadde akkirizibwa kuyingira nga nebannamawulire babagobyeyo.

Ate ku ddwaliro ly’ekawaala  eno abasawo bakedde kulasa mboozi awatali kukola ku mulwadde yenna nga bawera nti okugyako nga basasuddwa emyezi gyabwe 3, teri kukwata ku mulwadde yenna.

Nga bwekiri nti enjovu bbiri bwezirwana omuddo gwegukafiiramu, n’eno abalwadde naddala abakyala b’embuto ababadde bagenze okunywa eddagala bakonkomadde.

Embeera yeemu mu malwaliro amalala okuli erya Kiswa ,Komamboga; Kitebi n’amalala

wabula ye omwogezi wa KCCA Peter Kaujju ategezezza nga okulwawo okusasula abasawo bwekuvudde ku kwekenenya enkalala z’abasomesa n’abasawo okugyamu abakozi b’empewo.

Ono ategezezza nga banka enkulu bweyatunudde edda mwabo abaasunsuddwa nga era olunaku olwaleero nga terunaziba bajja kuba basasuddwa ssente zaabwe.

Ono wabula abasawo bonna okubeera abakkakamu