Amawulire

Abasenze basse nnyini ttaka ne bba e Mubende

Abasenze basse nnyini ttaka ne bba e Mubende

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2023

No comments

Bya Barbara Nalweyiso,

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kilwanyi ekisangibwa mu gombolola ye Kiruuma e Mubende abasenze bwebakakkanye Ku mukayala nnyini ttaka erisangibwa Ku Block 60 plot 1 ne bamutta wamu nebba.

Abagenzi kuliko Naava Milly Namutebi ne bba Kayizzi Abdullah nga bano okuttibwa babadde bakedde kugenda mu nnimiro kufuna mmere olwo ekibiina kyabasenze Ku ttaka lino ababdde babagalidde ebiso, emiggo,Embazzi wamu n’amayinja ne babatayiza nga nekidiridde kubatta nga bakozesa embazzi.

Abamu kubasimatuuse batubuliidde nti olukwe luno lwakulembeddwamu Ssentebe wekyalo Innocent Bangirana gwebalumiriza nti abadde aludde nga akuma omuliro mu basenze bano.

Poliisi okuva e Mubende etuuse kukyalo kino wamu nembwa enkozi y’olusu era nga omuyiggo gwabakoze ekikolwa kino gukyagenda maaso.

Abatuuze balumiriza abakulembeze mu kitundu okuli omubaka wa palamenti owekitundu kino Pascal Mbabazi ne Steven Ahimbisibwe sentebe wegombolola kirwanyi okukuma omuliro mubantu