Amawulire
Abasinga bazize okulonda mu misiri
Mu ggwanga lya Misiri abakulembeze batubidde n’okulonda kwebategeka ng’abantu bagaanye okukujjumbira
Okulonda kuno kwabadde kwa nnaku bbiri kyokka nga kwayongezeddwaayo okutuuka ku lw’okusatu naye ng’era teri bajjumbidde
Gavumenti y’amaggye efuga eggwanga lino olunaku lwajjo era yalulangiridde ng’olw’okuwummula okusikiriza abantu okulonda kyokka nga bino byonna tebiyambye.
Abantu obutajjumbira kulonda kireeseewo akabuuza ku buganzi bw’obukulembeze bw’amaggye mu ggwanga lino n’agakulira Abdul Fattah Al- sis nga naye yesimbyeewo era nga y’asuubirwa okuwangula
Munnamaggye ono ali ku ddaala lya Field Marshal yeeyavuunika Mohammed Morsi okuva mu ntebe