Amawulire

Abasiramu basabiddwa okwetanira pulogulaamu za Gavt begobeko Obwavu

Abasiramu basabiddwa okwetanira pulogulaamu za Gavt begobeko Obwavu

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Abasiraamu abasaalidde  ku kisaawe kye Nakivubo,Hajji Nsereko Mutumba,era nga ye mubaka wa gavumenti atuula mu disitulikiti eye Kayunga, ayozayozeza okutuuka ku lunaku luno wabula nabakuutira okwetanira entekateeka za gavt ezekwekulakulanya omuli eya parish development model ne myooga batereke ensimbi basobole okwekulakulanya.

Abakubiriza okwewala okuwuliriza bannabyabufuzi abawabya abantu kuntekateeka za gavumenti ezigendereza okuyamba abantu okwejja mu bwavu nga babalimba nti abaganyulwa bebannaNRM.

Ku beeyi ye bintu eye kannamye Mutumba akubiriza abasiramu okuzaawo entekateeka ya Ummah mu kifo kyokulinda gavt ebayambe.