Amawulire
Abasoba mu 10 bakwatiddwa
Poliisi webuzibidde ng’ekutte abantu 11
Bano beebamu ku babadde beekalakaasa nga bawakanya alipoota eyakolebwa ng’esingisa Loodimeeya Erias Lukwago omusango gw’obutakola bulungi mirimu gye
Amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti munaana ku bano baggaliddwa mu kampala ate abalala abasatu bali Naggalama.
Abavuganya basiibye beezooba ne poliisi nga bagala kukuba lukungaana ku Nakivubo settlement pulayimale school yadde nga poliisi ebadde yagaanye eby’okukua olukungaana luno ng’egamba nti lumenya mateeka