Amawulire
Abasoba mu 60 bafu, Munnayuganda yoomu ku bakoseddwa
Gavumenti egamba nti waliwo munnayuganda akoseddwa mu bulumbaganyi obwakoleddwa e Kenya ku kizimbe kya WestGate shopping mall
Ekiwandiiko okuva eri minisita akola ku by’amawulire, Rose Namayanja akakasizza kino yadde nga tayogedde bisingawo ku mannya g’omuntu ono, yadde ebimukwatako
Tekitegerekese era ngeri ki omuntu ono gy’akoseddwaamu nga gavumenti egamba nti yakwongera okuwa amawulire.
BBo abayisiraamu wano mu Uganda bavumiridde obulumbaganyi obwakoleddwa ku kizimbe kya Westgate shopping mall mu ggwanga lya Kenya.
Bannalukalala balumbye ekizimbe okuli edduuka gaggadde ku lunaku olw’omukaaga era nga nakati bakyasazeeko ekizimbe.
Omwogezi w’ekitebe eky’obuyisiramu mu ggwanga ekya Uganda Muslim Supreme Council, Al-Haji Nsereko Mutumba agamba kikyaamu abantu okutta banaabwe nga bekwese mu diini y’obuyisiramu.
Agamba obusiraamud diini ya mirembe era abakoze kino basaana kuvumirirwa.
Bino nga bili biti, bannanyini zi baasi ezitwala abantu e Kenya balagidde kati buli baasi eteekebwemu kamera okusobola okwetegereza buli muntu ayingira baasi zino.
Sentebe w’ekibiina ekigatta bananyini baasi nabagoba baazo Fred Bahati agamba era abagoba ba baasi zino balekera awo okutikka abasaabaze naddala bebasanze ku makubo mu ggwanga lya Kenya naddala mu buvanjuba bw’eggwanga lino kyokka ng’ekikyetaagisa ze Kamera.