Amawulire

Abasoba mu mitwalo 15 tebafunye bifo

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

pupils of Gulu Public Primary School 2

Abayizi abasoba mu mitwalo kkumi n’etaano beebatafunye masomero gebasaaba mu siniya esooka.

Kino kivudde ku kubeera nti obubonero bwaabwe bubi oba ng’amasomero gebaasaba gajjuzza

Bino byebimu ku biri mu kusunsula abayizi okugenda mu maaso wali ku Kampala international yunivasite e Kansanga

Amasomero agasinga gasigadde ku bubonero kwebatwalira abayizi omwaka oguwedde olw’ensonga nti abayizi baakola bulungi.

Essomero kya Ndejje okugeza lyo liwanise obubonero nga ku luno litutte abatasukka mukaaga eri abawala ate ng’abalenzi likomye ku musanvu

Akulira essomero lino Dr Charles Kahigiriza agambye nti kuluno baafunye abawala bangi abaasabye ng’abali mu 1000 beebasaba kyokka nga batutteko 140.

Ono agambye nti babadde tebasobola kusukka wo kubanga ebizimbe n’ebikozesebwa bya bayizi tebisukkawo.

Okuddako ku Buddo SS , akulira essomero lino Patrick Bakka Male agambye nti bbo bakomye ku bubonero 5 eri abawala ate abalenzi bakomye ku 4.

Ono agambye nti balina abayizi bangi abasaba okusomero ewaabwe naye nga tebalina kyakubakolera kwekusalako abamu.

Ng’ayogerera ku mukolo gw’okusunsula abayizi, minisita w’ebyenjigiriza Jesica Alupo agambye nti abayizi abasoba mu mitwalo 44 beebajja okusobola okufuna ebifo okuva ku bayizi emitwaalo 60 abaasaba ebifo mu siniya