Amawulire

Abasoma obusawo e Mulago beediimye

Ali Mivule

January 6th, 2015

No comments

 

Mulago newAbayizi abasoma obusawo nga bayambako okujanjaba mu ddwaliro ekkulu e Mulago bediimye nga kanaluzaala ava ku  butasasulwa  nsako yaabwe.

Bano nga basoba mu 150 bagamba nti tebanasasulwa nsako yaabwe eyakakadde akamu n’ekitundu  okuva mu mwezi ogw’ekkumi omwaka oguwedde.

Abayizi bano kuliko abagaba eddagala, abalongoosa n’abajanjabi ababulijjo bagamba betaagibwa okukola essaawa ezisoba mu 12 buli lunaku kale nga tebasobola ku kukola mirimu mirala ekibakalubirizza obulamu.

Yye omwogezi wa minisitule y’eby’obulamu  Rukia Nakamatte ategezezza nga ekizibu kino bwebakimanyi nga era bakola ekisoboka okulaba nga babasasula n’abasaba okusigala nga bakkakamu.