Amawulire

Abasomesa ba Lubiri High Sch bagudwako emisango kubya katambi ka Bayizi

Abasomesa ba Lubiri High Sch bagudwako emisango kubya katambi ka Bayizi

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abasomesa b’essomero lya Lubiri High School babiri bagudwako emisango gyóbulagajavu ku bya katambi ka vidiyo omwali abayizi béssomero nga basina amazina agatasana mu lujjudde.

Okusinzira ku katambi kano akasasaanira enyo emikutu egy’omutimbago omwezi oguwedde, abayizi abaali bagenda ku mwoleso gwe byobulimi e Jinja balabibwa mu baasi nga bazina amazina agengeri abantu abasing ne balowooza nti bali mu bikolwa ebyokwegadanga.

Ekikolwa ekino kyavumirirwa nyo bannauganda naddala abalwanirizi be ddembe lya bakyala era ne basaba gavt okunonyereza kunsonga eno ebeeko kyekola.

Kati mu kiwandiiko omwogezi wa poliisi Fred Enanga kyafulumiza olwaleero, agambye nti okunonyereza kwabwe kulaze nti abasomesa abaali mu baasi tebafaayo kukuuma bayizi bano ekyabavirako okukola byebagala.

Agambye nti baasi yalimu abayizi abasoba mu 70 kyokka nabasomesa ababawerekera baali babiri bokka nga baali batono okulabirira abayizi abangi bwebatyo.

Enanga ategezeza nti basazeewo abakulira essomero lino bayimirize abayizi bonna abenyigira mu bikolwa ebino kibe ekyokulabirako eri abalala.