Amawulire
Abasomesa balwanidde omusajja
Poliisi ku kyalo Jalamba mu disitulikiti ye Mpigi eriko abasomesa 2 beekute abakedde okulwanira mu maaso ng’abayizi ng’entabwe evudde ku musajja.
Abakwatiddwa kuliko Stella Nakyobe, akadde okulumbagana Agnes Nansereko , gwabade alumiriza okumwagalira omusajja olwo nebatanula okulwanagana.
Bano kati bagaliddwa ku poliisi ye Buwama nga bakuvunanibwa okufuuka ekyesitaza mu maaso g’abayizi.
Atwala poliisi ye Buwama Joseph Ayiki akakasiza okukwatibwa kwabano, nategeeza nti bakuvunibwa nga amateeka bwegagamba.
Mungeri yemu poliisi ye Buwama eriko abakozi mu bank y’obwegassi babiri beekutte , nga bano bateberezebwa okunyaga ensimbi obukade 50 n’ebaduka.
Abakwatidwa kuliko William Mulinde eyali manager ne Janet Nakyeyune eyali cashier, nga bano bali bakozi mu South Mawookota cooperative saving and credit limited esangibwa mu kabuga ke buwama.
Mukiseera kano bakuumirwa ku police ye buwama gyebanagibwa bavunanibwe ogwobunyazi