Amawulire

Abasomesa baweze okwekalakaasa

Ali Mivule

December 23rd, 2014

No comments

tweheyo

Abasomesa bawadde minisitule y’ebyenjigiriza okutuusa nga  30 January nga ebawadde obuwumbi bwabwe 25 eza Sacco oba ssi kyo bateeke wansi ebikola.

Mu  2012 Pulezidenti  Museveni y’awa Sacco y’abasomesa bano obuwumbi  25 nga baali baakuzisasula mu myaka 5 wabula nga kati wakyaliwo okusika omugwa ku ani alina okukwata ensimbi zino wakati w’abasomesa ne minisitule.

Kati ssabwandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga  James Tweheyo agamba olukiiko olufuzi olw’ekibiina kino lwakutuula nga 8 bateme empenda butya bwebagenda okutuukirira minisitule eno ebawe omutemwa gwabwe.

Tweheyo agamba singa minisitule elemererwa okubawa ssente zaabwe nga 30 January telunatuuka, teri kulinya mu kibiina nga olusoma olusooka lutandika nga 2 February.