Amawulire

Abasomesa e Kalangala banasengejjebwa

Ali Mivule

February 10th, 2015

No comments

Examinations new

Oluvanyuma lwa disitulikiti  ye Kalangala okusemba mu bibuuzo ebya siniya  eyokuna ,awamu n’ekibiina ekyomusanvu, abaayo batandise okukebera obukugu bw’abasomesa  okusobola okwawulamu abalina omutindo ogw’ekibogwe.

Ssentebe wa disitulikiti ye Kalangala Willy Lugoloobi mu lukiiko lwatuuzizza n’abakugu b’ebyenjigiriza abakulembeddwaamu atwaala ebyenjigiriza mu Kalangala Emmanuel Nseko   , ategeezeza nti akooye okuswalanga buli bigezo lwebifuluma.

Lugoloobi ategeezeza nti emirundi mingi abasomesa abasindikibwa e Kalangala bava mu Kibuga , gyebigweera nga abasinga basuddewo emirimo gyabwe.

Kinajjukirwa nti disitulikiti  ye Kalangala yafuna abayizi babiri mu ddaala erisooka  mu bibuuzo ebyasiniya eyokuna ,songa abaana 31 baagwa ebibuuzo ekyaleetera distulikiti eno okulangirirwa nga y’esembye.

Kati lugoloobi agamba nti beetaaga okufuna abasomesa abanaasobola okusomesa abaana nga nekusomero basiibawo.