Amawulire
Abasomesa tebannasasulwa
N’okutuusa kati abasomesa abamu tebanafuna musaala gwaabwe.
Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomea bano mu ggwanga James Tweheyo agamba nti abasomesa abasoba mu mitwalo 25,000 tebanasasulwa emisaala gya December January ne February.
Tweheyo agamba nti embeera eno eremeseza abasomesa okukola emirimu gyabwe era bakuyita olukiiko lw’abasomesa olw’okuntikko bateese ku nsonga eno.