Amawulire

Abasomesa tebetegese okuweebwa ssente-Moriku

Abasomesa tebetegese okuweebwa ssente-Moriku

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Minisita owebyenjigiriza ebisokerwako Dr Joyce Moriku asabye ebibiina ebibiri, ebigatta abasomesa mu masomero gobwananyini okuteeka ebbali enjawukana zaabwe, nay bakolerere wamu okusobola okufuna ssente obuwmbi 20 ezabaweebwa omukuelmbeze wegwanga.

Mu July womwaka guno, Pulezidenti Museveni yasubizza obuwumbi 20 eri abasomesa mu masomero gobwannayini zibayambeko olwengeri gyebali bakoseddwamu ssenyiga omukambwe, okuva amsomero lwegagalwa.

Ssente zino zaalina okuyisbwa mu bibiina byabasomesa ebyobwegassi, wabula nokutuusa olwaleero tezibawebwanga nga gavumenti egamba nti tebanetegeka ekimala.

Bwabadde ayogerako naffe Dr Moriku agambye nti ssente zino weziri okuva mu minisitule yebyensimbi, naye endoliito mu bibiina byabasomesa ebibiri zezikyalemesezza.

Agambye nti kati ensonga ziri mu maaso ga Ssabawolerereza wa gavumenti, yajja okuwabula ku kituufu ekirina okukolebwa.