Amawulire
Abasubuuzi ba KACITA beemulugunyiza ku batembeeyi abayiye Emmaali ku Nguudo
Bya Mike Sebalu,
Abasuubuzi wansi w’ekibiina ekibagatta ekya Kampala City Traders Association (KACITA) balaze obweraliikirivu olw’omuwendo gw’abatembeeyi abayiye emmaali ku nguudo nga sizoni y’ennaku enkulu yeyongera okusembera
Okusinziira ku Ssentebe wa KACITA, Thaddeus Musoke, ng’abakulembeze batandise okufuna okwemulugunya okuva eri abasubuuzi abakolera mu bizimbe ku muzze guno ogubavirako okufiirizibwa.
Okusinziira ku mateeka, okutunda ebintu ku nguudo kikugirwa mu sizoni y’ennaku enkulu era kati abasuubuzi balajaanidde ekitongole kya Kampala Capital City Authority okuyiwa ttiimu ya basirikale babwe ekwasisa amateeka okukola ku batembeeyi bano.
Musoke era elabudde ne kukulekaana okweyongedde enyo mu kibuga wakati