Amawulire
Abasubuzi besunze okuggula ensalo y’eGatuna
Bya Ritah Kemigisa
Abasubuzi wansi wa Kampala City Traders Association, KACITA baanirizza ekyokuggulawo ensalo ye Gatuna.
Rwanda yafulumizza ekiwandiiko nga bakakasa ng bwebagenda okuggula ensalo yeKatuna/Gatuna nga 31 January.
Kino kyadiridde enteseganya ezibadde zigenda mu maaso, nga gyebuvuddeko omuddumizi wamagye ga UPDF agokuttaka Lt Gen Muhoozi Kainerugaba era mutabani womukulembeze wegwanga yasisinkana omukulembeze wa Rwanda Paul Kagame mu kibuga Kigali.
Bwabadde ayogerako naffe ssentebbe wa KACITA, Thaddeus Musoke agambye nti basubidde bingi.
Uganda yali eyingiza obukadde bwa $ 200 nga bwebuwumbi 744 buli mwaka, mu busubuzi wakati waabwe ne Rwanda.