Amawulire
Tenda etabudde Abasubuzi b’omukatale k’e Kireka
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu basuubuzi bomu katale ke kireka oluvanyuma lw’ebiwayi bibiri okufuna obutakanya ku ani alina okufuna tenda y’okuddukanya akatale kano.
Ekiwayi kya Dan Mubiru kilumbye aba Muzzanganda wasswa olwo nezidda okunywa ekiwalirizza poliisi okubakubamu omukka ogubalagala okusobola okukakanya embeera.
Dan Mubiru nga y’abadde ne Tenda eno yamugyidwako abakulira Division ya Kira nebajiwa Muzzangada ekileesewo okutabuka.
Abawagizi ba Mubiru balumbye akatale kano bakeddize ku mpaka nebasanga aba Muzzanganda nga babalinze olwo ebifuba nebibabuguma okutuusa poliisi lw’ebiyingiddemu.