Amawulire

Abasuubuzi abakolera kunguudo mu Nyendo balagibwa okwamuka

Abasuubuzi abakolera kunguudo mu Nyendo balagibwa okwamuka

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2022

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Abakulembeze mu kibuga Masaka balagidde abasuubuzi mu Nyendo abakolera wabweru w’akatale okwamuka oluguudo n’ekigendererwa eky’okutandika okukola oluguudo luno.

Oluguudo olwogerwako lwa Circular road olwetoloola akatale ka Nyendo nga lugenda kukolebwa aba Kampuni ya China Railway 3 Limited okumala ebbanga lya mwaka gumu nga lwa kilo metre 1.993 era nga lwakuwemmenta ensimbi obuwumbi 9 nobukadde obusoba mu 94.

Mu lukiiko olutudde mu katale enkya ya leero, akulira okulondoola emirimu mu kibuga Masaka Vincent Kasumba ategeezezza nti tewali gwebagenda kuttira ku liiso wabula baamuke ekkubo oluguudo lusobole okukolebwa.

Samuel Tusasirirwe abapatanye okukola oluguudo luno asinzidde wano naasaba abantu okukwatagana.

Abasuubuzi, basabye wabeewo enteekateeka enambulukufu ey’okubasengula.