Amawulire

Abasuubuzi ba KACITA bagala Govt yegayirire America esigale mu Katale ka AGOA

Abasuubuzi ba KACITA bagala Govt yegayirire America esigale mu Katale ka AGOA

Ivan Ssenabulya

November 7th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abasuubuzi abali wansi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ki Kampala City Traders Association (KACITA) bawadde gavumenti omulimu gw’okwegayirira Amerika okuzzaamu eky’okugoba Uganda mu katale ka AGOA.

Wiiki ewedde, Pulezidenti wa Amerika, Joe Biden yategeezezza nti agenda kugoba Uganda, Central African Republic, Gabon, ne Niger katale kano okutandika ne January 2024.

Mu kwanukula Pulezidenti Museveni wiiki eno yagambye nti Bannayuganda tebalina kweraliikirira nnyo olw’okusalawo kwa Washington okuggya eggwanga ku katale kano kuba telina kyakufiirwa nyo.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu kutongoza empaka za KACITA Quality Awards ez’omulundi ogw’okusatu, ezigenda okubeerawo nga 24th /November/2023 mu Kampala, ssentebe w’ekibiina kino, Thaddaeus Musoke agambye nti AGOA yeetaagibwa nnyo singa Uganda egenda kukulaakulana mu by’enfuna.

Bwatyo asabye gavumenti enoonye engeri y’okukuuma akatale ka AGOA nga teyerabidde ssente mmeka ezifunibwa okuva ebweru w’eggwanga okuva mu by’amaguzi ebitundibwayo ng’eyita mu katale kano.