Amawulire

Abasuubuzi ba Kalungi beekalakaasizza

Ali Mivule

November 17th, 2014

No comments

Kalungi traders

Abasuubuzi abakakkalabiza egyaabwe ku kizimbe kya Kalungi Plaza bavudde mu mbeera nebekalaakasa ng’obuzibu za bupangisa

Kiddiridde nannyini kizimbe kino Moses Kalungi okwongeza ez’obupangisa era ng’amaduuka gonna ag’abatannasasula agakubyeeko bakanyama

Kino kijje abasuubuzi mu mbeera nga beemulugunya ku kikoleddwa Kalungo.

Bagamba nti tebawereddwa kadde kwetegeka nga babagudeko bugwi nga kati basobeddwa

Wabula Kalungi tatawaanye kwezooba na bano, n’aggalawo ekizimbe ekirese bangi nga bakandaliridde