Amawulire

Abasuubuzi baggadde amaduuka

Ali Mivule

August 18th, 2014

No comments

Gazaland

Abasuubuzi ku bizimbe bisatu basazeewo okuggala amaduuka gaabwe ng’obuzibu za bupangisa.

Ebizmbe ebyogerwaako kuliko Corner aracade, Galiraaya ne Gazaland.

Bagamba nti kyabawedde okufuna amawulire ng’ensimbi z’obupangisa zongezeddwa ate mu ngeri yekibwatuukira nga tebalabuddwa

Bano bagamba nti n’embeera ebizimbe gyebirimu ssi ye eryaawo eseeza omuntu kubanga tebirina kabuyonjo nyonjo ate nga ziseerebwa.

N’emasanyalaze nsonga ku bizimbe bino nga babasaba ensimbi nyingi

Ebizimbe ebyogerwaako bya mugagga Tom Kitandwe.

Poliisi eri mu kitundu kino okulaba nti tewabaawo kavuyo konna kyokka ng’abasuubuzi beeremye nti ssi bakuddamu kukola okutuuka nga ensimbi z’obupangisa zisse

Kawefube w’okufuna nanyini bizimbe bino agudde butaka