Amawulire
Abasuubuzi balabuddwa okukomya okunyaga bannauganda
Bya Ndaye Moses
Ssabalabirizi wekanisa ya Uganda, Kazimba Mugalu asabye bannabyabusuubuzi okwekomya okweyambisa okupaluuka kwa beeyi ye bintu okunyaga bannauganda.
Ono ategezeza nti abasuubuzi bangi beeyambisiza akaseera kano okuddumuula ebeeyi ye bintu nga tewali abakuba ku mukono nga bekwasa olutalo lwa Russia ne Ukraine
Ssabalabirizi bino abyogedde ayogerako eri abalamzi ku kiggwa kya bajjulizi abakristaayo e Nakiyanja.
Mungeri yemu asabye bannadiiini okuzaawo ettabi lya Father’s Unions mu buli ssaza basobole okugunjula omwana owobulenzi kyagambye nti kyakuyambako mu kulwanyisa ebikolwa ebyokutulugunya abaana abobuwala na bakyala.