Amawulire
Abasuubuzi batabukidde bannakenya
Abasuubuzi mu Uganda bawadde gavumenti ya Kenya ennaku 14 okuta ebyamaguzi byaabwe byonna byebakwatira ku mwaalo e Mombasa
Konteyina ezisoba mu 400 zeezitubidde ku mwaalo yadde nga banyini zo baasasula buli kimu.
Mu lukiiko abasuubuzi lwebatuddemu basazeewo nti bakutandika okukozesa omwaalo gwe Dareesalam kubanga abe Kenya babalemesezza.
Omwogezi w’abasuubuzi Isa Ssekitto agamba nti era basabye gavumenti okulemesa ebyamaguzi okuva e Kenya okuyingira mu Uganda ssinga egaana okubawuliriza
Bino bizze nga pulezidenti Museveni yakatabukira gavumenti ya Kenya n’ategeeza nga bw’ajja okuyimiriza ebyamaguzi byaabwe ebiyingizibwa mu Uganda ssinga tesazaamu ku ky’okuyimiriza okuyingiza sukaali ava e Uganda