Amawulire

Abasuubuzi e Lyantodde bavudde mu mbeera

Abasuubuzi e Lyantodde bavudde mu mbeera

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2022

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Abasuubuzi abakakkalabiza emilimu mu katale e Lyantonde beekumyemu ogutaaka nga bawakanya engeri abakulembeze ba Lyantonde Town Council gyebaagala okubagobaganya mu katale nga balumiriza nti baandiba akatale baakatunda.

Abasuubuzi bagamba nti abakulembeze ate abaandibalwaniridde ate bebabagobaganya nga mu kiseera kino batubidde n’amabanja ga banka nebasaba gavumenti ebayambe.

Ssentebe w’akatale kano John Balaza agamba nti waliwo abasuubuzi abalina emidaala egiwera nga Kanso eyagala bano bagigabaneko n’abalala.

Wabula ssentebe wa town council ye Lyantonde abasuubuzi gwebalumiriza okwagala okubagobaganya Mustafa Kalule asambazze ebyogerwa nti ayagala kugobaganya basuubuzi naagamba nti ayagala kutereeza katale kasobole okuganyula buli muntu.