Amawulire
Abasuubuzi ku Nasser Beekalakasizza
Abasuubuzi ku luguudo lwa Nasser beekalakasizza nga ssi kirala wabula masanyalaze.
Bano abakolero ku kizimbe kya Muzza nga bava mu limu ku maduuka bagamba nti baweebwa bill ya masanyalaze ya bukadde busatu naye nga tebazikozesangako.
Basazeewo okukuma ebipiira mu luguudo ekitataganyizza eby’entambula.
Poliisi wabual atuuse mu budde era ng’akkakkanyizza abasuubuzi bano nebesogga akafubo okulaba engeri y’okukwatamu ensonga eno.
Akulira poliisi ya CPS James Ruhweza agamba nti ensonga eno bagenda kugikolako n’akulira ekizimbe okulaba nti okwekalakaasa kuno tekuddamu