Amawulire
Abatabufu b’emitwe b’eyongedde mu ggwanga mu myaka ebiri egiyise
Bya Moses Ndaye,
Abasawo ku ddwaliro e Butabika bagamba nti obulwadde bwa batabufu be mitwe bweyongedde nyo mu ggwanga mu myaka 2 egiyise.
Akulira eddwaliro lino, Dr. Juliet Nakuu agamba nti ekirwadde kya COVID-19 kye kimu ku bizibu ebyavaako abatabufu b’emitwe okweyongera.
Agamba nti wadde eddwaaliro lino lirina ebitanda 550, abalwadde abasoba mu 1000 be baweebwa ebitanda mu ddwaaliro lino.
Agamba nti, mu buli bantu 10 -4 kubo balina ekiwuubaalo, era kino kivaako okutawaanyizibwa endwadde ezeekuusa kubwongo.