Amawulire

Abateberezebwa okuba abamenyi bámateeka e Jinja 30 bakwatibwa

Abateberezebwa okuba abamenyi bámateeka e Jinja 30 bakwatibwa

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi ekutte abantu amakumi asatu abateeberezebwa okutigomya abatuuze mu kibuga kyé Jinja.

Bano bakwatibwa mu kikwekweto ekikolebwa e Kakira ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga bwebadde bagenda okuziika munnaabwe eyafudde mu disitulikiti y’e Bugweri.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Kiira, James Mubi ategeezezza nti abakwate babadde batambulira mu mmotoka ekika kya omnibus.

Anyonodde nti okukwatibwa kyaddiridde abatuuze okutemya ku poliisi kwekubayoola.

Abakwate babadde benyigira mu misango gyobubbi, okunywa enjaga nóbutemu.

Poliisi egamba nti okwemulugunya naddala okuva mu batuuze bé Bugembe mu Jinja north Division ku bantu abababba ku badde kungi.