Amawulire

Abatembeeyi bakubiddwa mizibu

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

HAkwers

Poliisi ye  Butenga mu disitulikiti ye  Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’omusuubuzi akubye abatembeeyi katono abatte  lwakukyama mu maka ge okuguza ku b’enyumba ye ebintu.

Abatembeeyi okuli Brian Matovu 30 ne  David Mbazira 25  baddusiddwa mu ddwaliro lya Butenga Health Center nga bali bubi oluvanyuma lw’okuwuttulwa omusuubuzi  Joseph Mbusi.

Kigambibwa nti  Matovu ne Mbazira babadde batera okukyama , mu maka ga Mbusi okuguza abantu be eby’amaguzi wabula kuluno y’abasanzeeyo n’abawuttula.

Okusinziira ku Matovu , Mbusi y’abagalidde mu geeti ye n’atandika okubawuttula nga era mukyalawe yeyabataasizza bweyagambye bb anti ssi babbi wabula batera okumuleetera eby’okugula.

Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Butenga  Malicerino Mulema, akakasizza kino nga era polisi ekyayigga Mbusi n’okunonyereza nga bwekukyagenda mu maaso.

Agamba Mbusi wakugulwako gwakukuba Muntu.