Amawulire
Abatta omuyizi basibiddwa emyaka 28
Abasajja basatu abagambibwa okutta omuyizi wa siniya y’okuna n’obubbi basibiddwa emyaka 28
Sgt. Noah Tumwesigye nga mujaasi mu barracks ye Mbuya n’omutembeeyi Fred Ssekandi basibiddwa emyaka 28.
Yye omulala gwebavunaanibwa naye ng’ono mugoba wa piki ku siteegi ye Nabugabo asibiddwa emyaka 32
Abasatu bano kigambibwa okuba nti batta William Muhumuza eyali omuyizi ku ssomero lya Cream Land Secondary School e fort portal
Omuvubuka ono yali atambula ne maama we Jennifer Manyindo nga yye bamubbako akasawo akaalimu obukadde bubiri n’ekitundu , essimu ya Nokia n’endagaano y’ettaka