Amawulire
Abatta owa mobile money e Zana basimbiddwa mu kaguli
Bya Ruth Anderah , Abantu 5 omuli na baaliko abajaasi b’eggye ly’eggwanga 3 bebasimbidwa mu kkooti ya bannamagye e Makindye ne bavunanibwa emisango gy’okuba nga be batta omusubuzi wa mobile money mu bitundu by’e Zana Harriet Nalwadda.
Okusinzira kw’akulembeddemu oludda oluwaabi mu kkooti y’amagye eno Leutnant. Cololonel Rapheal Mugisha nga ennaku z’omwezi 10th June 2019 wali mu bitundu by’e Zana abateberezebwa bano bakuba Nalwadda ne munne Moureen Nakabubi amasaasi agabatiiraawo.
Mungeri yemu bavunaniibwa omusango gw’okubba ensimbi obukadde 6 mwe mitwalo 800 ezaali eza Nalwadda kati omugezi nga bakozessa ekika kye mmumdu SMG nayo gye balina mu bukyamu.
Kati basindikidwa kwa limanda e Luzira okutussa nga August 5th nga n’okunonyerezza bwe kugenda maaso.