Amawulire

Abatta ow’ekitongole kye ttale babakutte

Abatta ow’ekitongole kye ttale babakutte

Ivan Ssenabulya

July 17th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu district ye Bukwo eriko abantu 3 bekutte nga bano kigambibwa nti bebatta omukuumi wekitongole kye ttale ekya Uganda Wild Life Authority, Cpl Ndiwerera Samson owemyaka 49.

Omusajja ono yatibbwa nga 3 ku ndanikwa yomwezi ogwomusanvu, ye ne banne bwebaali bagenze okutaasa ebisolo okwali eddubu ebyali bitolose okuva mu kkumiro lyebisolo erya Mt Elgon National park nebigenda mu batuuze ku kyalo Kapkisuyi.

Eno kigambibwa nti aba UWA baakuba amasasi mu bantu, ekyavirako nomutuuze Cherope Sam okufa.

Kino kyajja abantu mu mbeera nabo nebakuba abakuumi bano.

Katwi omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Sippi Rogers Titika agmbye nti abakwate kuliko Chekwasa Bannard owemyaka 28, Mutai Timothy owemyaka 24 ne Mutai Simon, abatuuze mu gombolola ye Swamu ne Senendeti.