Amawulire
Abatujju bagaala kulumba Uganda
Poliisi ezzeemu okulabula bannayuganda ku bulumbaganyi bw’ekitujju.
Kino kiddiridde ebifulumya nga abakambwe ba Al-Shabab bwebagala okulumba amaundiro g’amafuta, n’ebimotoka abigatambuza.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Patrick Onyango agamba poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe ebirala kati batunulidde ebifo ebimotoka by’amafuta bino webitera okusimba Naluwerere, Mbiko, Lugazi, Nakawa n’ebifo ebirala nga era basindiseyo dda basajja baabwe okubikuuma.
Agamba abasirikale ba poliisi abalwanyisa obutujju mu ggwanga kati bakuwerekera ebimotoka byamafuta byonna okuva ku nsalo e Busia ne Malaba mu bibinja.
Agamba tekyali bimotoka bino kati kuleeta mafuta mu bitundu by’ekampala nemiriraano nga byakuyingiranfa wakati w’essaawa 3 ez’ekiro ne 12 ez’okumakya nga era nabyo byakuwerekebwa abasirikale ba poliisi abalwanyisa obutujju.