Amawulire
Abatujju bandirumba Uganda-Poliisi
Poliisi ezzeemu okulabula bannayuganda ku batujju
Senkaggale wa poliisi, Gen Kale Kaihura agamba nti afunye amawulire nti abatujju bagaala kulumba Garden city oba Nakumatt mu kampala.
Kaihura agambye nti bakyagenda mu maaso n’okwetegereza amawulire gano kyokka era n’asaba abantu okubeera abegendereza ennyo
N’ab’ekibiina ky’amawanga amagatte bayisizza okulabula abakozi baabwe nga babagaana okuyita mu bifo bino mu nnaku zino.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Patrick Onyango agamba nti abakozi mu bifo ebikungaanya abantu abangi nabo balina okufuba okulaba nti baloopa omuntu yenna gwebekengedde oba ekitereke.