Amawulire

Abatunda amata mu bipipa beekalakaasizza

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

Milk prices up

Abasuubuzi b’amata mu ggwanga bali mu kwekalakaasa nga bawakanya ekya gavumenti okulagira amata gonna agatundibwa mu ggwanga gabe nga galongoseddwa era nga gasabikiddwa mu bipaketi.

Bano basazeewo okusimba ebimotoka byabwe eby’amata byonna okwetolola eggwanga.

Edward Butera nga ye mwogezi w’ekibiina ekitaba abatunzi b’amata bano agamba kino ssikyabwenkanya kubanga kampuni ezilongoosa amata zakubafotola nga zigula amata gaabwe ku beeyi ey’okubajeregerera.

Byo ebimotoka by’amata ebisoba mu 100 olwaleero tebikoze nga baagala gavumenti ekyuusemu oba sikyo bbo bakugenda maaso n’akadiimo kaabwe. 

Abantu abasoba mu 900 bebali mumulimu guno ogw’okutunda amata mu ggwanga.