Amawulire
Abatuuze balajanidde Ssabaminisita kunjala e Karamoja
Bya Rita Kemigisa,
Abakulembeze mu disitulikiti ye Otuke balajanidde yafeesi ya ssabaminisita okubaddukira nóbuyambi bwemmere oluvanyuma lwenjala okwongera okuluma abatuuze ekiviriddeko abamu okufa.
Okusinzira ku bbalauwa ewandikibwa akulira abakozi mu disitulikiti, Simon Akileng, eri omuteesiteesi omukulu mu yafeesi ya ssabaminisita abatuuze mu Otuke bazze babonabona okuvira ddala 2019, bwebalumbibwa enzige ne zonoona ebirime
Wabula ate omwaka guno CAO agamba bongedde okulaba ennaku olwenkuba entono gyebafuna eyakosa abalimi nevaamu enjala kati etogomya abatuuze.
Akileng wasabidde ssabaminisita okuvaayo kunsaonga eno okutaasa abatuuze abali mu kusoberwa.
Kigambibwa nti abantu abasoba mu mitwalo 50 tebarya kunta mu bitundu bye karamoja songa abasoba mu 40 bafudde enjala.